Similar Songs
Credits
COMPOSITION & LYRICS
Rowenah Birungi
Songwriter
PRODUCTION & ENGINEERING
Samuel Bisaso
Producer
Lyrics
Ddala ne'buuza oba nga
Emiggo jebakukuba jokka jyali tejimala kumponya
Na'magwa gebakufumita kumutwe omusaayi neguyiika
Ddala byali tebimala...
Oba kale engeli endala gyewandiyiseemu okumponya
Etali eyo ejudde entiisa
Hmm hmm hmm hmmm
Etiisa gyenfuna nyingi nebwenkilowozaako bulowooza kinkaabya
Kiyuza omutima gwange nga wadde wakikola nze mpone
Ekifo nga kinene kyewatwaala
Obwo obulumi tebulojeka
Wetika obuzito bunene nnyo kulwange mpone
Nga waguma taata
Ekifo kyange kinene kyewatwaala
Obwo obulumi tebugambika
Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone
Nga waguma
Ye wandowozaak'otya nze omukuusa (omukuusa
Kyewunyisa okubanga nange ndi mwabo
Bewasasila (bewasasila.)
Aah aah aahh (aah aah aahh)
Manyi no'kwetunulila nga nenyooma
Nga ndaba kizibu okubanga wanunula
Byona byalina kuba kunze naye wagaana (wagaana
Otaase embilizi zange...
Kisa na'baki ekyo ekitasosola
Ekyalondola nange eyali tasanila...
Ekifo nga kinene kyewatwaala (kyewatwaala
Obw'obulumi tebulojeka
Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone
Nga waguma taata
Ekifo kyange kinene kyewatwaala
Obw'obulumi tebugambika
Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone
Nga waguma
Emiggo jyandi maze oba kale bandi kugobye
No'baviira no'genda ewala
Oba engule yandi maze oba kale bandi sonyiye
Nebasasila nebatayambula
Naye wayagala oweeyo ekisingayo
Gwali musaayi. omusaayi. omusaayi
Ekifo nga kinene kyewatwaala
Obw'obulumi tebulojeka
Wetika obuzito bunene nnyo kulwange mpone
Nga waguma taata
Ekifo kyange kinene kyewatwaala
Obulumi tebugambika
Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone
Nga waguma
Writer(s): Rowenah Birungi
Lyrics powered by www.musixmatch.com