Lyrics

Ooh oh oh Oba laavu Nagikola ki? Enkasuse ebweru Sikyabisobola Omukwano nguwe ani atanimbe bannange? Wanawake niwaongo Abakazi bafuuka balimba si banaffe Wanawake niwaongo Nange ndi ku kanayokya ani? Wanawake niwaongo Nguwe ani? Babe luno mpite ani? Wanawake niwaongo Oh oh oh Nga nawaalirira nnyo N'omutima ne nzisaayo Obusente bwonna ne mbuwaayo Kyokka omugagga n'amulyawo! Ah ah Mu kibuga oba mu kyalo Amazima baagavaako Mpulira njagala mbiveeko Gwe nzijula ntya ne sirya! Ne gwe nafuna omulala ah Kyali kikwangala Bana bana atugattika Katube bina atupambana Abakazi ab'embaliga Nze mbalinamu omukisa Yegonzanga kumbe Major General mu bwenzi! Omukwano nguwe ani atanimbe bannange? Wanawake niwaongo Abakazi bafuuka balimba si banaffe Wanawake niwaongo Nange ndi ku kanayokya ani? Wanawake niwaongo Nguwe ani? Babe luno mpite ani? Wanawake niwaongo Oh oh oh Omukazi nga waakamufuna taba na buzibu Awulira omuyita ayitaba Emize gye abeera agikwekerera yerungiya aba nga malayika Bwe liyita atandika kumaguka Nga mberenge ayogera atulika Ng'alinga akwatiddwa ensalika Apalappalanya aba nga makanika Ndowooza ngume mpowe Ndeke omukwano nsigale ppeke Kuba maze akaseera nga bantulugunya nsula mu ntebe Akomawo atomera amalebe Gumukutte emimwa n'ebigere Ali ku ssimu akuba n'obukule Ye anywa bunywi okuva ku mmande Mbu I can stay without you Ono w'anywa ayogera luzungu ho! Omukwano nguwe ani atanimbe bannange? Wanawake niwaongo Abakazi bafuuka balimba si banaffe Wanawake niwaongo Nange ndi ku kanayokya ani? Wanawake niwaongo Nguwe ani? Babe luno mpite ani? Wanawake niwaongo Oh oh oh Nze yankuba katono anzite Sikulimba Nga nsula ku ttale Bw'akkuba n'omuddiza guba musango Kyenva nguma n'embale Nakatinda yanjooga Lwe yapaala ne Mugisha Luvannyuma n'ankiina Mbu nnyimbe ne ku mbaga ha! Ky'ova olaba mbeera eno Nzekka lwa nsonga ezo Ngumira mpewo ekunta eno Ekiro mu kisenge eyo Oh ho oh oh Omukwano nguwe ani atanimbe bannange? Wanawake niwaongo Abakazi bafuuka balimba si banaffe Wanawake niwaongo Nange ndi ku kanayokya ani? Wanawake niwaongo Nguwe ani? Babe luno mpite ani? Wanawake niwaongo Oh oh oh Double Kick Yaled
Writer(s): Nelly Trussler Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out