Lyrics

Mitima bagikweka nga buwale munda Bantu ba Mukama! Tuli ku kiki kino? Bwe bamala okusomoka, nga bavuma Abantu emitima bagikweka Bagikweka Ekireetera abantu omenya amateeka Bagikweka Abantu emitima bagikweka Katuddeko mu lw'eka Mbadde international ka nnyimbire ku b'eka Bagikweka Story ya Ashburg Katto Yatwewuunyisa nnyo! Abadde People Power osala eddiiro! Full Figure obujulizi mbulina ku butambi Omuwala abikkulira omusajja ku bisambi Ate n'amala gwe n'akyusa olutambi! Bankwata, bankaka, banforcinga Bryan White ng'olabye n'ebizibu Laavu ya Kojja Kitonsa Abuuza Grace Khan mbu ani yakuyonsa? Bujingo n'ayawuka n'omukyala mu ntiisa Divorce laba ne bakaayanira ekkanisa Bantu ba Mukama Tuli ku kiki kino? Bwe bamala okusomoka, nga bavuma Abantu emitima bagikweka Bagikweka Ekireetera abantu omenya amateeka Bagikweka Abantu emitima bagikweka Katuddeko mu lw'eka Mbadde international ka nnyimbire ku b'eka Bagikweka Ssaabavvulu Balaam ne Chameleone Nga mwakola zi million Mwesoyaasoya ebigambo ku microphone Mwesiiga busa na bitoomi Abantu emitima bagikweka mu bikomera munda Mitima bagikweka nga buwale munda Bo bagikwekera ddala eri mu bufunda Abantu abo batutunda Wano jjo nalabye Bajjo Ku bya corona ng'akawunga ke akanonayo Muli ne neebuuza lwaki yakawaayo? Abantu emitima bagikweka Bagikweka Ekireetera abantu omenya amateeka Bagikweka Abantu emitima bagikweka Katuddeko mu lw'eka Mbadde international ka nnyimbire ku b'eka Bagikweka Tozannya na ba bad mind people Comedy wa Madrat and Chiko Mukinjaagi na lipo, oh yeah Bad mind people omutima tereka mu nsiko Bajja basmilinga beesiizeeko akazigo Mudido, muliro ku muzigo Antenna ku signal Tobuuza gwe kiki kino? Mall nzigule Arcade nzigale Boda atya musirikale Bubbi buli mu katale Bintu bya military Mbaga ya Komuntale Mwami mulokole Yesu ye mulokole Abantu emitima bagikweka Bagikweka Ekireetera abantu omenya amateeka Bagikweka Abantu emitima bagikweka Katuddeko mu lw'eka Mbadde international ka nnyimbire ku b'eka Bagikweka
Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out